CCK Luganda

CCK Luganda

Okusomesebwa Baibuli mu Luganda
00:00
00:00

Résumé de l'épisode

Mukama Katonda nga bw’ali Katonda w’abantu bonna, era akolera abantu bonna mu ngeri zonna okusinziira ku biki bye bayitamu. Kino tukirabira ku bakazi bano ababiri mu ssuula eno Mukama be yakolera okuyita mu nnabbi Erisa.

Épisodes

30-

2 Bassekabaka 4:1-37 Ffenna Twetaaga Katonda

Mukama Katonda nga bw’ali Katonda w’abantu bonna, era akolera abantu bonna mu ngeri zonna okusinziira ku biki bye bayitamu. Kino tukirabira ku bakazi bano ababiri mu ssuula eno Mukama be yakolera okuyita mu nnabbi Erisa.

10 nov. 2026
29-

2 Bassekabaka 3:1-27 Ekigambo Kya Mukama Kituwanguza

Mu ntalo zonna tuli bawanguzi n’okukirawo mu Kristo Yesu oyo atuwa amaanyi. Entalo ez’omubiri n’ez’omwoyo ku kibi, tulina obuwanguzi mu Kigambo kya Katonda n’omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo.

04 nov. 2026
28-

2 Bassekabaka 2:1-25 Mukama Ayita Era Atwala Abaweereza

Buli lunaku olukya, na buli mukisa ogutuweebwa okubaako kye tukola eri abantu ba Katonda tulutwalenga nga lwa mugaso ne bye tulina okulukoleramu bibe ebyo ebitalitukwasa nsonyi mu maaso ga Katonda eyatuwa obuvunaanyizibwa obwo.

27 oct. 2026
27-

Tofiira Mu Maaso Ga Muwonya _ 2 Bassekabaka 1_1-18 [10-18-26]

Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ye Katonda ajjudde ekisa n’okusaasira eri buli muntu ajja gy’ali ng’anoonya okusaasirwa okuva gy’ali. Wabula abalina okumanya ku bimukwatako ne bategeera ye y’ani, bamanyi nti era ye Katonda akyawa obujeemu, obonereza ekibi, era alina obusungu eri abakola eby’obujeemu.

20 oct. 2026
26-

Obukakanyavu Bw'emitima Butwaala mu Kuzikirira _ 1Bassekabaka 22 [10-11-26]

Obukakanyavu Bw'emitima Butwaala mu Kuzikirira _ 1Bassekabaka 22

13 oct. 2026